Bya Nalule Aminah
Poliisi mu disitulikiti y’e Lwengo etandiise okunoonyereza engeri omusibe Mulindwa Gozanga myaka 25 gy’afiiridde mu kadduukulu ka poliisi ak’e Kisaka police station ku kyalo Kyalububu mu ggombolola y’e Kingo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bendobendo ly’e Masaka Kangave Paul, kadduukulu musangiddwamu ebintu ebiri mu ccupa era kiteberezebwa nti Gozanga anywedde butwa.
Omulambo gwa Gozanga gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Lwengo okwekebejjebwa okuzuula ekivuddeko okufa kwe.
Kigambibwa mukyala wa Gozanga ategerekeseeko erya Nanyonjo okufuna omusajja omulala y’emu ku nsonga lwaki bba (Gozanga) asazeewo okwetta.