Mu East Africa, omuyimbi Diamond Platnumz amaliridde okuzaala abaana mu buli ggwanga.

Mu uganda, Platnumz yazaala abaana mu Zari Hassan, mu Tanzania ali omwana mu Hamisa Mobetto ate mu kiseera kino agava mu ggwanga erya Kenya galaga nti Tanasha Donna ali lubuto lwa Platnumz.

Mu mbeera eyo, Tanasha yawerekeddwako omu ku b’oluganda lwe amanyikiddwa nga Popet okulya obulamu ku mazzi ne muganzi we mu ngeri y’okweraga omukwano.

Wabula abamu ku mikwano gwa Tanasha bamulabudde okwegendereza bba Platnumz kuba ayinza okwagala Popet mu kiseera kino ng’ali lubuto, “Take care she can easily snatch, that Diamond you call yours from you, Hope Diamond will not come for her, she is young and beautiful”.

Mikwano gya Tanasha gigamba nti Platnumz talina muzannyo ku bawala kyokka alina okusaba nti singa amwagala, alina okweyambisa akapiira okubatangira okufuna olubuto.