Poliisi y’e Kagadi ekutte omuvubuka ku by’okutta muganda we olw’obutakaanya ku ttaka.
Gerald Kugonza nga mutuuze ku kyalo Kahanama mu ggombolola y’e Burora mu Disitulikiti y’e Kagadi yakwattiddwa ku by’okutta mukulu we Alozio Twinomujuni nga yamukubye enkumbi ku mutwe, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku batuuze, Kugonza yasangirizza mukulu we Twinomujuni ng’alima mu ttaka lye bakayanira, namukuba enkumbi ku mutwe.
Twinomujuni yafiiridde mu kkubo nga bamutwala mu kiliniki ya St. Luke okufuna obujanjabi.
Akulira Poliisi y’e Burora, Alex Rubanaga agambye nti Kugonza akwattiddwa ku misango gy’obutemu ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine Julius Hakiza agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ekivuddeko ettemu.