Poliisi y’e Hoima ekutte abantu basatu (3) abeegulidde erinnya mu kuba abatuuze obutayimbwa ne batwala ebintu byabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu bya Albertine, Julius Hakiza abakwattiddwa amannya gasirikiddwa, okuyambibwa mu kunoonyereza era bagiddwa mu Monisipaali z’e Hoima ez’enjawulo.
Abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Hoima era kigambibwa babadde bakolagana n’abantu ab’enjawulo omuli n’abasuubuzi okubba ebintu nga balina akatale.
Sabiti ewedde, Poliisi yakwata abasuubuzi babiri (2) nga balina ebintu ebibbe omuli amassimu, Laptop, Ttiivi, ekiraga nti bangi ku bbo benyigira mu kubba.