Yivensita alaze nti wadde alina ssente, naye ategeera kye bayita okulya obulamu mu mbeera yonna.
Omuyimbi Winnie Nwagi yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu era wakati mu kukuba omuziki, Yivensita yalinye ku siteegi okufuna omukisa okuzinako ne Nwagi.
Mu kusooka, yivensita yetya kyokka oluvanyuma Nwagi yamukutte ku mukono okuzina bombi.

Mu butonde, omusajja yenna singa asisinkana omukyala gwe yegoomba mu bulamu bwe, ebitundu by’omubiri bikyuka era yivensita wadde alina ssente, bwe yalinye ku siteegi, yalabiddwako nga waaya etandiise okuwaga kuba Nwagi obwedda azina yeekulukuunya ku fulaayi y’empale, ekyawadde abadigize essanyu n’enseko wakati mu kusakaanya.