Kyaddaki omuyimbi Diamond Platnumz abikudde ekyama lwaki ali mu laavu ne Tanasha Donna munnansi wa Kenya.

Mu kiseera kino agava mu ggwanga erya Kenya ne Tanzania galaga nti Tanasha ali lubuto lwa Platnumz era laavu wakati waabwe yeyongera buli lunnaku.

Mu mbeera eyo, Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi lwaki ali mu laavu ne Tanasha.

Platnumz agamba nti ye ne Tanasha bonna bakyali baana bato, bakwata mpola ebintu, balina ssente ate bonna balabika bulungi, “YOUNG , IN LOVE, HUMBLED , RICH & CUTE COUPLE…❤❤❤”.

Ebigambo bye biraga nti yasuulawo Zari Hassan kuba yali mukyala mukulu mu myaka.

View this post on Instagram

A post shared by SIMBA..!🦁 (@diamondplatnumz)