Omulamuzi Mary Babirye aggyeko Don Nasser Nduhukire myaka 32 emisango egibade gimuvunaanibwa egy’okufera ensimbi.

Omulamuzi agambye nti takyasobola kugenda mu maaso na musango gwo kuba oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi.

Don Nasser yakwattibwa bigambibwa nti aliko omusajja Omumerika amannyidwa nga Johnhill gwe yafera ssente 700,000USD.

Poliisi yakwata Don Nasser ne mikwano gye Gilbert Sesaazi ne Hamuza Melema okubayambako mu kunoonyereza.

Mu kkooti, omulamuzi Babirye alagidde Poliisi Don Nasser okumuddiza eby’obugagga bye ebyamutwalibwako omuli emotooka ez’ebbeeyi kuba omusango gwe gugobeddwa.