Kampuni y’ebyokunywa eya Crown Beverages Limited efulumya ssooda omuli Pepsi, Mirinda, Mountain Dew, Sting n’amazzi ga Nivana yakasasaanya obukadde bwa ssente 500 eri abawanguzi ba Mobile Money ne Airtime mu kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi ekyagenda mu maaso.
Kampeyini ya Tukonectinge bukya atandiika ku ntandikwa y’omwaka gunno 2019 ku mmotoka 25 eza Toyota Wish, bakawangulako emmotoka 18, ku bantu 24 abeetagibwa okutwalibwa mu kibuga Dubai okulya obulamu, bakafuna abawanguzi 17, ku Fridges 24 bawanguddeko, bangi bawangudde Airtime, Mobile Money n’ebirabo ebirala.
Eno wiiki ya 9 ng’abantu bawangula ebirabo mu kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi, ebibalibwamu Biriyoni 4 era kampeyini egendereddwamu Kampuni ya Crown Beverages Limited okuddiza bakasitooma baayo n’okutumbula enkolagana etaggwawo.

Godfrey Ssebuma ne Bright Mukiibi wakati mu ssanyu bakubirizza bannayuganda okuyingira akazannyo ka Tukonectinge with Pepsi kuba bawonye okutambuza ebigere olw’okuwangula emmotoka ekika kya Toyota Wish.
Okusinzira ku Hellen Kamisani akulira obwa kitunzi mu bitundu bye Rubaga, Crown Beverages bakoze kampeyini ez’enjawulo omuli Twangula, Sala Puleesa, Chamuka, Motozela ne Mirindarific era abantu bangi baawangula ebirabo eby’enjawulo kyokka ku mulundi gunno, kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi egendereddwamu okugumizza enkolagana ne bakasitooma baabwe ssaako n’okunoonya abalala.

Mu kampeyini yonna, abantu 25 balina okuwangula emmotoka, 24 okutwalibwa mu kibuga Dubai mu United Arab Emirates, Fridges 24, okuwangula Airtime, Mobile Money n’ebirabo ebirala.
Omuntu anasinga okusindiika ‘Code’ ku 8777 wakuwangula emmotoka ya 25.
Omuntu yenna okwetaba mu kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi, olina okunywa eccupa ya ssooda omuli Pepsi, Mirinda oba Mountain Dew.
Olina okusindika Code eri wansi wa chokolo ku 7888 ng’oli ne munno emirundi ez’enjawulo era osobola okuwangula ebirabo eby’enjawulo omuli ssente, airtime, Soda n’ebintu ebirala.
Buli lwa Ssande ku ssaawa 12 ez’akawungeezi, ku NTV Uganda, TV West ne Bukedde TV kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi eragibwa butereevu okufuna abawanguzi abalala.