Bya Nalule Aminah
Bannakibiina kya Democratic Party (DP) olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu bategese omukolo gagadde okwaniriza mu butongole omuyimbi Joseph Mayinja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone mu kibiina kyabwe.
Okusinzira ku Pulezidenti w’ekibiina, Norbert Mao, Chameleone okwegatta ku kibiina kya DP, kabonero akalaga nti alabye omusana, okufuna ekibiina ekitambulira ku mazina n’obwenkanya.
Omukolo gutwaliddwa ku Sharing Hall Nsambya, Chameleone okumukwasa kaadi mu butongole n’okumwagaliza emikisa okuvuganya ku bwa Loodi meeya bwa Kampala mu 2021.
Mao agamba nti embeera yonna eriwo eraga nti DP 2021 erina okukwata obuyinza okulembera eggwanga lino kuba efunye abazannyi abalungi abategeera omuzannyo gwe byobufuzi.
Chameleone asuubirwa okuvuganya n’abantu ab’enjawulo omuli Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, omubaka Latif Ssebagala (Kawempe North) n’abalala.