Kyaddaki ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kiraze wekituuse mu kunoonyereza ku bazigu abasse owa boda-boda mu bukamwe wiikendi ewedde mu kiro ekyakesezza ku Lwomukaaga.
Obwa bodaboda eyattiddwa kitegerekese bulungi nti ye Derrick Mulindwa abadde omutuuze we Nabweru.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga, abatemu basoose kukweka nnyondo mu kifo ekyo kyenyini webattidde Mulindwa.
Enanga era agambye nti abakugu mu Poliisi bali mu kwekeneenya obutambi bwombi kibasobozese okuzuula abatemu.
Bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Enanga yagambye nti Gavumenti eyongedde amaanyi mu kuteeka kkamera ku nguudo zonna kuba kigenda kuyamba nnyo okutangira ebikolobero n’okuyamba Poliisi mu kunoonyereza.
https://www.youtube.com/watch?v=ypiNL6MhojI