Abantu 3 abaali bayimbulwa ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi bazzeemu okukwattibwa.

Abakwate kuliko Abdul Ali Mugoya nga mutunzi wa Bizigo, mutuuze ku kyalo Nakalama mu disitulikiti y’e Iganga, Dhikusooka Faisal amanyikiddwa nga Farouk nga mulimi era mutuuze we Butaleja ne Abdul Kaala Tigasitwa nga musisi wa chapati e Bwaise.

Munnamateeka waabwe Anthony Wameli alopedde omulamuzi wa kkooti e Nakawa ow’eddaala erisooka Posiano Odwori nti abantu be bakwattibwa era bali ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku misango e Kireke.

Wameli agamba nti mukwano gwe Geoffrey Turyamusiima yalemeseddwa abasirikale okukyalira abantu be abakwattiddwa n’okuzuula emisango lwaki bazzeemu okwattibwa.

Abakwate bayimbulwa kakalu ka kkooti ku misango gy’okutta Kaweesi oluvanyuma lw’emyezi 6 ku limanda mu kkomera e Luzira

Kaweesi yattibwa nga 17, March, 2017, e Kulambiro n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne Dereeva Godfrey Mambewa.

Mu kkooti e Nakawa, omusango guddamu okuwulira nga 1, August, 2019.

Abalala abakwate abali ku misango gy’okutta Kaweesi ne banne kuliko  Abdul-Rashid Mbaziira, Aramanzani Noordin Higenyi (Taata Abdullazack), Yusuf Mugerwa (Wilson), Bruhan Balyejusa (Jimmy Masiga Ogutu), Joshua Magezi Kyambadde (Abdu Rahman), Jibril Kalyango (Abu Aisha), Yusuf Siraje Nyanzi (Jimmy Ssentamu) ne Shafik Kasujja.