Bya Nakaayi Rashidah

Ekiyongobero kibutikidde abatuuze b’e Nabbingo mu ggombolola y’e Nsangi mu Disitulikiti y’e Wakiso webagudde ku mulambo gw’omusajja, eyattiddwa mu kiro ekikesezza leero.
Omusajja eyattiddwa okusinzira ku Poliisi abadde avuga bodaboda kuba asangiddwa ng’ayambadde ekikofiira ku mutwe, ekimanyiddwa nga “Helmet” nga yenna yakubiddwa ng’omubiri gwonna gujjudde ebiwundu n’okusingira ddala ku mutwe.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa n’okunoonyereza ab’enganda.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango asabye abantu bonna abanoonya omuntu waabwe okugenda mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago kuba kigenda kuyambako Poliisi okuzuula ebikwata ku musajja eyattiddwa.

Eddoboozi lya Onyango