Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku nsonga z’omuwala Martha Kay oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okufulumizibwa ng’ali bukunya mu May wa 2019.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, akakiiko akavunaanyizibwa okulwanyisa obuseegu aka Pornography Control Committee, kalagira Poliisi okugulawo fayiro okunoonyereza ku ngeri ebifaananyi bya Martha Kay gye byatuuka ku mitimbagano gya yintanenti.
Onyango agamba nti mu kiseera kino abakulu ku kakiiko ka Pornography Control Committee bakyalinda Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Rev. Fr. Simon Lokodo okuva ebweru w’eggwanga okubalambika ku nsonga eyo.
Mungeri y’emu agambye nti fayiro ku poliisi yagulwawo akakiiko akalwanyisa obuseegu era balina okulinda okutuusa nga kalaze obwetaavu okutwala Martha Kay mu kkooti oba omuntu yenna avunaanyizibwa okufulumya ebifaananyi bye.
Eddoboozi lya Onyango