Omulamuzi wa Kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu, akawangamudde bw’ategezeza nti talina buyinza okuwandikira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okweyanjula mu kkooti ng’omujjulizi ku musango gwe yali omussomesa ku yunivaasite y’e Makerere Dr Stella Nyanzi.

Omulamuzi Kamasanyu okutabuka, kidiridde bannamateeka ba Stella Nyanzi okulemerako nti Museveni alina okujja mu kkooti okulumiriza Nyanzi kubigambibwa nti yamunyiiza.

Omulamuzi abawadde amagezi okwesigama ku bantu abalala kuba talina buyinza kuyita wadde okuwandikira Pulezidenti Museveni okuggya mu kkooti ku musango gwonna.

Gladys Kamasanyu
Gladys Kamasanyu

Dr. Nyanzi ali ku misango gy’okweyambisa omukutu ogwa Face Book okuvvoola ekitiibwa n’okunyiiza omukulembeze w’eggwanga ssaako ne nnyina kati omugenzi Estell Kokundeka era bannamateeka be nga bakulembeddwamu Isaac Ssemakadde babadde balemeddeko Pulezidenti Museveni okuggya mu kkooti okulumiriza Nyanzi.

Nyanzi yakwattibwa mu November wa 2018 era omusango guddamu enkya ya leero.