Bya Nalule Aminah
Poliisi eyungudde basajja baayo okunyweza ebyokwerinda nga bannakibiina kya Democratic Party (DP) okukuba olukungana ku Sharing Hall e Nsambya.
Olukungana lugendereddwamu okuwa abantu ab’enjawulo Kaadi y’ekibiina kya DP nga bakulembeddwamu Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone.

Mu kiseera kino, bannakibiina kya DP batandiise okutuuka wakati mu byokwerinda, okutangira omuntu yenna ayinza okukola effujjo.

Okusinzira ku Pulezidenti w’ekibiina, Norbert Mao, Chameleone okwegatta ku kibiina kya DP, kabonero akalaga nti alabye omusana, okufuna ekibiina ekitambulira ku mazina n’obwenkanya.

Dr Chameleone agamba nti 2021 alina okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala era okufuna kaadi ya DP, kigenda kumuyamba nnyo okutuukiriza ebigendererwa bye.

