Famire y’omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone evuddeyo ku nsonga z’omuntu waabwe okwegatta ku kibiina kya Democratic Party (DP).
Olunnaku olw’eggulo, DP yawadde Chameleone kaadi y’ekibiina ku mukolo ogwabadde ku Sharing Hall, Nsambya, Kampala.
Nnyina wa Chameleone, Proscovia Namirimu agamba nti famire yaabwe okuva edda, ebadde ewagira kibiina kya DP.

Maama Namirimu agamba nti okunoonya ensimbi, y’emu ku nsonga lwaki mutabani we Chameleone, yayimba mu Tubonga Naabwe kyokka si muwagizi wa kibiina kya NRM era talina kaasi yonna.
Mungeri y’emu agambye nti okulonda kwonna, famire ebadde ewagira DP era tewali mbeera yonna mutabani we Chameleone gy’abadde alina okuwagira NRM.
Ebigambo bya Maama biraga nti mu bulamu bwe tawagirangako Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Eddoboozi lya Maama Namirimu