Bya Nalule Aminah

Poliisi ekutte omuyizi ku yunivaasite y’e Kyambogo ku by’okutta omusomesa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Asiimwe Robert yakwattiddwa ku by’okutta eyali omusomesa we ng’ali mu Secondary Mugalula Emanuel eyabadde agenze okumukyalirako.

Asiimwe ali ku Poliisi y’e Banda mu kiseera kino ku misango gy’obutemu era omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti essaawa yonna bagenda kumutwala ku Poliisi y’e Jinja Road okutegeeza Poliisi engeri omusomesa gye yattiddwamu.

Mugalula abadde musomesa ku St. Charles Lwanga High School, Kashekuro Marembo mu disitulikiti y’e Bushenyi.

Asiimwe okukwattibwa, kidiridde okuyita omuvuzi wa sipensulo okutwala kasasiro eyabadde ateekeddwa mu kiveera.

Owa sipensulo yekengedde ekyabadde mu kiveera kwekuddukira ku Poliisi era abasirikale okwekeneenya ekiveera kwekusangamu omulambo gwa Mugalula.

Amangu ddala Asiimwe yakwattiddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza ekyavuddeko Mugalula okuttibwa.

Eddoboozi lya Onyango