Sheebah Kalungi alaze nti okukola ennyo y’engeri yokka omuntu yenna gyasobola okwetusaako kyeyetaaga.
Sheebah agamba nti asobodde okweyambisa talenti y’okuyimba okunoonya ssente okwezimbira enju amatiribona e Munyonyo ng’omukyala.

Enju ya bukadde bwa ssente era mu Uganda y’omu ku bakyala abalaze eky’okulabirako nti kisoboka.



