Oluvanyuma lw’omuyimbi Dr Jose Chameleone okwegatta ku kibiina kya Democratic Party (DP) olunnaku olw’eggulo, nate Tamale Mirundi avuddeyo ku nsonga eyo.

Mirundi agamba nti Chameleone essaawa yonna bagenda kumukwata atwalibwe e Luzira kuba tewali Gavumenti esobola kukirizza kamanyiro.

Bw’abadde ku Ttiivi emu mu Kampala enkya ya leero, Mirundi agambye nti, “tosobola kulya ssente za Gavumenti n’ogenda nga Chameleone, Chameleone alidde ssente mpitirivu nnyo mu Gavumenti era toyinza kumala gagenda“.

Mirundi era agambye nti mu kiseera kino mukyala wa Chameleone, Daniel Atim alina okunoonya akafaliso akatono ne kabulangiti kuba essaawa yonna bba balina okumutwala e Luzira.

Tamale Mirundi agamba nti Chameleone ekyamututte mu DP kubuzabuza bannayuganda nti singa kwattibwa Poliisi, bantu bagamba nti, Gavumenti emunyigiriza kuba yagenze mu DP kyokka byonna alina okubyerinda.