Omuyimbi Spice Diana alagudde Dr Jose Chameleone okulya obwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda kwa 2021.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Spice Diana y’omu ku bayimbi abetabye ku mukolo ng’ekibiina kya Democratic Party (DP) kikwasa Chameleone Kaadi y’ekibiina gy’agenda okweyambisa okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya.

Spice Diana agamba nti Chameleone singa alya obwa Loodi Meeya, alina essuubi nti ye muntu omutuufu okuyamba abantu abanyigirizibwa mu mbeera ez’enjawulo.

Mungeri y’emu agambye nti Chameleone muntu w’abantu era ategeera bulungi nnyo ebizibu ebiruma abantu mu Kampala nga kino kye kiseera abayimbi bonna okumuwagira.