Shanita Namuyimbwa amanyikiddwa nga Bad Black agudde mu bintu era alaze nti omukyala yenna asobola okweyambisa vuvuzera okufuna eby’obugagga.
Bad Black olunnaku olwaleero ajjaguza okuweza emyaka 30 ku kabaga akategekeddwa ku Kampala Kingdom leero ku Lwokutaano.
Wabula tukitegeddeko nti bba omuzungu yamuwadde kapyata y’emmotoka ekika kya Mercedes Benz.
Bad Black okulaga omukwano n’okusiima, emmotoka asobodde okugiteekako erinnya lye Black Gal ng’akabonero akalaga nti vuvuzera ye emutuusiza ku birungi.