Kkooti y’oku lugundo Buganda wansi w’omulamuzi Gladys Kamasanyu ezzeemu okusindiika omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 11, omwezi gunno, ogw’omusanvu.

Olunnaku olwaleero, omulamuzi Stella Amabirisi abadde alindiriddwa okuwulira okusaba kwa Bajjo okweyimirirwa kyokka mu kkooti omulamuzi Kamasanyu, yabaddemu kwekumutegeeza, okudda sabiti ejja ku Lwokuna, omulamuzi Amabirisi ali musango gwe okuwuliriza okusaba kwe.

Omulamuzi Kamasanyu ategeezeza nti omulamuzi Amabirisi ali mu luwumula era bwatyo Bajjo aziddwa e Luzira wakati mu byokwerinda.

Wabula munnamateeka we omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, alopedde omulamuzi nti omuntu we ali mu mbeera embi, mulwadde lwadde ate mu kkomera gy’ali tebalina bujanjabi okuleka okumuwa amakerenda, agakendeza obulumi.

Bajjo ali ku misango ebbiri omuli egy’okukuma mu bantu omuliro n’okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga era kkooti enkya ya leero ebadde ekubyeko ab’enganda, abako n’emikwano.