Poliisi ekutte landiroodi, Mutebi Ronald ku by’okubba ebintu bya Mulindwa Derrick owa bodaboda eyalabikidde ku katambi ng’attibwa abazigu sabiti ewedde ku Lwomukaaga.
Mulindwa kati omugenzi abadde abeera ku nju za Mutebi e Nabweru mu Zooni y’e Kabira mu disitulikiti y’e Wakiso era abadde akolera ku siteegi ya Mini Price mu Kampala.
Mulindwa yatugiddwa butugibwa abeefudde abasaabaze n’okumukuba ennyondo ku mutwe ezaamuttiddewo Mengo – Kakeeka mu munisipaali y’e Lubaga n’oluvannyuma ne batwala ssente ezitamanyiddwa muwendo ne pikipiki ye nnamba UER 197M.
Aba famire y’omugenzi batuuse mu nju okugyamu ebintu ng’ebimu bitwaliddwa kwekutemya ku poliisi oluvanyuma lwa landiroodi Mutebi okwegaana.
Poliisi amangu ddala yayingidde mu nsonga era ebintu by’omugenzi omuli engatto, engoye, dikooda, olutimbe lwa Kompyuta byasangiddwa nga bikwekeddwa wansi w’ekitanda mu nju ya Mutebi.
Mutebi mu kwewozaako kwe agamba nti ebintu yabiggye mu muzigo gwa Muwonge ng’antya nti ababbi bandimenya enju ne batwala ebintu byonna.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti landiroodi Mutebi akwattiddwa ayambeko Poliisi mu kunoonyereza era fayiro y’omusango eri ku namba SD:38/01/07/2019.
Eddoboozi lya Onyango