Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Luweero, Doreen Ajuna asindise ku Limanda abantu basatu (3), abakwatibwa ku misango gy’okubba nga beyambisa eryannyi.
Abasindikiddwa ku limanda kuliko Edward Katongole nga mutuuze ku kyalo Nakasero mu ggombolola y’e Katikamu, Paul Kigundu nga mutuuze ku kyalo Kayanja mu Divizoni y’e Lubaga mu Kampala ssaako ne Ivan Nsubuga nga mutuuze mu kibuga kye Luweero.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, abakwate ne banaabwe abakyalira ku nsiko benyigira mu kubba abantu ab’enjawulo nga beyambisa ebijjambiya n’amayinja omwali Joel Baganda, Hassan Buwembo, Swaibu Lubwama ne Omony Omala nga 23, omwezi oguwedde ogwomukaaga, 2019.
Omulamuzi Ajuna abavunaanibwa tabakkiriza kwogera kigambo kyonna era basindikiddwa ku limanda mu kkomera Butuntumula okutuusa nga 22, omwezi gunno ogw’omusanvu.
Poliisi egamba nti abakwate batwala ensimbi enkalu ssaako n’amassimu era okwekebejja amaka agaabwe nga 24, omwezi oguwedde ogwomukaaga, mwasangibwamu amajjambiya ssaako n’amayinja.