Kkooti ento etuula e Kajjansi yakuwulira omusango gwa paasita Aloysious Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa mu kyama mu ofiisi y’omulamuzi nga tewakkiriziddwaayo bannamawulire yenna.
Bugingo yaddukira mu kkooti n’agisaba asatulule obufumbo bwe ne Teddy kuba omukazi yali yeeyisa bubi.
Mu kkooti, omutakiriziddwa bannamawulire, agavuddeyo galaga nti omukyala kyaddaki yakkiriza okwawukana ne bba wakati mu kunyolwa kyokka balina okugabana eby’obugagga omuli Salt Media, ekkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere – Kikoni, poloti z’ettaka mu Wakiso ne Mukono ne poloti eweza yiika 20 kw’azimbidde omugole Susan Makula Nantaba enju ku kyalo Nakedde, Namayumba mu Wakiso.
Omusango guddamu okuwulirwa nga 21, July, 2019 kyokka ensonga enkulu, yakuteesa ku ngeri gye bageenda okugabana ebintu kuba omukyala Teddy alemeddeko ku nsonga y’ettaka okutudde ekkanisa Makerere n’enju, Paasita Bugingo gy’azimbidde omugole Makula.
Ekifaananyi kya Bukedde