Kyaddaki omuyimbi Diamond Platnumz abikudde ekyama lwaki muganzi we munnansi wa Kenya, Tanasha Donna Oketch alina ebirungo eby’enjawulo ku bakyala abalala.
Muto wa Platnumz, Esma Khan bwe yabadde ku laadiyo ya Wasfi yagambye nti Tanasha mukyala wanjawulo nnyo kuba talina katemba ate ebintu bye tebitambulira ku mitimbagano gya yintaneeti.

Mungeri y’emu Khan agamba nti Tanasha mukyala mulungi ate yeewa ekitiibwa mu mbeera yonna okusinga ku bakyala abalala.
Ebigambo bye, biraga nti y’emu ku nsonga lwaki muganda we Platnumz, yasuulawo Zari ku lwa Tanasha kuba muntu wanjawulo nnyo.
Kimanyiddwa nti Zari mukyala wa “social media” nnyo wadde mukyala akuliridde, ekimufudde ow’ettutumu mu Africa kyokka Tanasha wadde mukyala muto, eby’emitimbagano gya yintanenti tabiriiko nnyo.