Poliisi mu Kampala ekutte Moses Angoria, omusirikale mu kitongole eky’obwananyi ekikuumi ekya Saracen ku by’okutta omusuubuzi Arnold Ainebyona Mugisha ku ssaawa nga 4 n’ekitundu ez’okumakya ga leero.
Ainebyona akubiddwa esasi mukamwa erimutiddewo ku Quality Supermarket e Naalya, ekitabudde abatuuze.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Luke Oweyesigyire, Ainebyona abadde ne mikwano gwe ebbiri (2) nga bava ogula ebintu mu Supermarket era akagaali okubadde ebintu ne kanoona emu ku mmotoka, ekiwaliriza abakuumi, okuyingira mu nsonga.
Oweyesigyire agamba nti Ainebyona nga yabadde avuga emmotoka bw’ayabadde okudda emabega nalinya ku kigere ky’omukuumi, ekitabudde embeera.
Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, Omukuumi Angoria akimye emmundu, naakuba Ainebyona mu kamwa, banne bagezezaako okumutwala mu kalwaliro e Ntinda, nakutuka nga bakamutuusa.
Oweyesigyire agamba nti Poliisi okuva e Kira bw’etukidde mu kifo ng’omukuumi Angoria akubiddwa abatuuze era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’ali mu mbeera embi, omulambo gwa Ainebyona gutwaliddwa mu ggwanika nga n’abakuumi ababiri (2) abakola ne Angoria bakwattiddwa.
Ku Poliisi e Kira wali e Namugongo baguddemu fayiro y’omusango gw’obutemu.
Ainebyona yabadde nannyini Hickory Bar e Naalya-Namugongo.