Omutanzaniya Diamond Platnumz ali mu ssanyu oluvanyuma lwa mukyala we Tanasha Donna okuva mu ggwanga erya Kenya okumutegeeza ekika ky’omwana gw’agenda okumuzaalira.

Tanasha bwe yabadde ajjaguza okuweza emyaka 24 ku kabaga mu ggwanga erya Tanzania, yabuulidde bba Platnumz nti basuubira omwana omulenzi mu banga tono nnyo.

Platnumz yafunye essanyu olwa Tanasha okumutegeeza nti agenda kumuzaalira omwana omulenzi era ebigambo bye biraga nti amwerabizza abaana beyazaala mu Zari Hassan n’abakyala abalala omuli Hamisa Mobetto.
Mungeri y’emu Platnumz amaliridde okuzaala mu bakyala ab’enjawulo mu East Africa yonna kuba mu Uganda yazaala mu Zari, Tanzania mu Mobetto ate mu Kenya, Tanasha asulirira kuzaala.