Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti muganzi we Tanasha Donna ye mukyala yekka ali ku mutima gwe era yekka ali mu birowoozo bye.
Platnumz bwe yabadde ku kabaga k’amazaalibwa ga Tanasha ne nnyina, yagambye nti awulira essanyu okukuza olunnaku lw’amazaalibwa ag’abakyala ababiri (2) basiinga okwesiga, okwagala n’okulowozaako mu bulamu bwe, “Words can’t express how happy I am to celebrate the birthday of the two women that I love the most, my lovely mom and lovely baby“.
Mungeri y’emu yebaziza mukyala we Platnumz okumwagala kuba afuuse mukwano gwe era amwagala nnyo, “Thank you so much my lover, my best friend, I love you“.
Ku mazaalibwa, Platnumz yawadde mukyala we Tanasha kapyata y’emmotoka ekika kya Toyota Landcruiser Prado ne nnyina Landcruiser V8, ekiraga nti mu kiseera kino, omukwano gwe ne Tanasha tewali muntu yenna ayinza kubawula. Tanasha yabadde ajjaguza okuweza emyaka 24.