Entiisa egudde mu abatuuze ku kyalo Kaberebere cell mu town council y’e Kaberebere mu disitulikiti y’e Isingiro owa bodaboda eyabuzibwawo nga 29, June, 2019 bwasangiddwa nga yattibwa.
Ssali Faisal myaka 17, omulambo gwe gusangiddwa ku kyalo Nyarubungo II cell mu ggoombolola y’e Masha nga gusibiddwa akandooya n’emiguwa era nga gutandiise okuvunda.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, Samson Kasasira tewali muntu yenna akwattiddwa ku misango gy’okutta Ssali.
Kasasira era agambye nti Poliisi atandiise okunoonyereza engeri gye yattiddwamu, lwaki yattiddwa ne bodaboda gy’abadde avuga okuginoonya gye yatwaliddwa.