Omuyimbi Rema Namakula kyaddaki alaze nti bba Eddy Kenzo ye musajja yekka ali ku mutima gwe ku nsonga za laavu.
Rema asobodde okufulumya vidiyo y’oluyimba “Be With You” kyokka ebigambo ebiri mu luyimba, biraga nti alina omusajja gw’abadde asindikira obubaka era simulala wabula bba Kenzo.

Mu luyimba, Rema agamba nti ye mwetegefu okuba mu laavu ne musajja we wadde waliwo ebintu eby’enjawulo ebibasomooza omuli ebigambo by’abantu.

Wabula abamu ku bagoberezi ba Rema ku mukutu ogwa Face Book bagamba nti omusajja ali mu vidiyo alina laavu okusinga Kenzo era singa kisoboka, abadde alina okudda mu bigere bya Kenzo kuba alabika bulungi nnyo.