Kyaddaki omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabirisi ayimbudde omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events kakalu ka kkooti ka bukadde 4 ez’obuliwo.

Bajjo ali ku misango ebbiri omuli okukuma mu bantu omuliro n’okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni omwezi oguwedde ogwomukaaga.

Sabiti ewedde, munnamateeka we Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago yategeeza omulamuzi nti Bajjo ali mu mbeera mbi, mulwadde alumizibwa mu lubuto nga yeetaaga obujjanjabi obwamangu kyokka mu kkomera e Luzira tewali bujjanjabi.

Enkya ya leero, omulamuzi Amabirisi asambaze okusaba kw’oludda oluwaabi nti Bajjo singa ayimbulwa, ayinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe.

Mungeri y’emu asabye obukadde 20 ezitali za buliwo ku bantu abasatu (3) abaleteddwa okweyimirira Bajjo era bonna basabiddwa okuwaayo Ndaga Muntu y’eggwanga.

Abamweyimiridde kubaddeko Abbey Musinguzi amanyikiddwa nga Abtex, Aloysius Matovu Kiiza ne Moses Bigirwa owa Democratic Party (DP).

Omulamuzi y’omu ayongezaayo omusango gwo okutuusa nga 25, July, 2019.

Mu kkooti ebadde ekubyeko ab’enganda, abako n’emikwano, Bajjo oluyimbuddwa babugaanye essanyu.

Bajjo yakwatibwa nga June 15, 2019 okuva ku bbaala ya Mix Louge ku Centenary Park bwe baali mu lukung’aana lwa bannamawulire ne Abtex.