Famire y’omugenzi Ainebyoona Arnold Mugisha boogedde emu ku nsonga eyavuddeko omuntu waabwe okuttibwa sabiti eno ku Lwokubiri.
Ainebyoona myaka 26 yakubiddwa amasasi omukuumi wa Quality Supermarket e Naalya mu kamwa agaamutiddewo.
Olunnaku olw’eggulo, aba famire nga bakulembeddwamu taata w’omugenzi Plan Mugisha yagambye nti enjawukana mu mawanga y’emu ku nsonga lwaki mutabani we yattiddwa mu bukambwe obw’ekitalo era ebigambo bye byawaliriza aba famire okuyunguka amaziga.
Taata agamba nti mutabani we yattiddwa kuba yabadde Munyankole era Poliisi erina okunoonyereza ku nsonga eyo.
Bwe yabadde mu kusabira omwoyo gwa mutabani we Ainebyoona ku All Saints Cathedral Nakasero, Kampala, Taata Mugisha yakoowodde Gavumenti okwongera amaanyi mu kulwanyisa enjawukana mu mawanga.
Mungeri taata ayagala omukuumi Moses Angoria owa Saracen Uganda okunyonyola eggwanga lwaki yasse mutabani we Ainebyoona.
Ainebyoona abadde omu ku banannyini Hickory Bar and Restaurant e Kololo era wakuziikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano ku kyalo Lubaale e Ntungamo