Omutegesi w’ebivvulu Ssaalongo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events olunnaku olwaleero akomezebwawo ku kkooti ku luguudo Buganda okuddamu okuwuliriza okusaba kwe okweyimirirwa ku misango egimuvunaanibwa.

Omulamuzi Stella Amabirisi yali mu musango gwe kyokka temanyiddwa oba omulamuzi olunnaku olwaleero anabaawo kuba sabiti ewedde, omulamuzi Gladys Kamasanyu yategeeza Bajjo nti Amabirisi ali muluwumula.

Mu kkooti, munnamateeka wa Bajjo, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago yategeeza omulamuzi Kamasanyu nti omuntu we (Bajjo) ali mu mbeera mbi, mulwadde alumizibwa nnyo mu lubuto ng’era yeetaaga okufuna obujjanjabi obwamangu kyokka mu kkomera e Luzira tewali bujjanjabi.

Bajjo ali ku misango ebbiri omuli egy’okukuma mu bantu omuliro n’okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni era kkooti enkya ya leero, lweddamu okuwuliriza okusaba kwe oba anakirizibwa okwewozaako ng’ava mu makaage.

Bajjo yakwatibwa nga June 15, 2019 okuva ku bbaala ya Mix Louge ku Centenary Park bwe baali mu lukung’aana lwa bannamawulire ne Abtex.