Diana Nabembezi omuyizi mu mwaka ogw’okusatu ku St. Lawrence University ng’asoma byabusuubuzi awangudde kapyata y’emmotoka ekika kya Toyota Wish mu Kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi.
Kampuni eya Crown Beverages Limited (CBL), efulumya eky’okunnywa kya Pepsi, Mirinda, Mountain Dew, Sting, n’amazzi ga Nivana batoongoza kampeyini ya Tukonectinge okudizza ku bakasitooma ebintu eby’enjawulo.
Kampeyini ya Tukonectinge yakamala sabiti 11 era ku mmotoka 25, 22 ziwanguddwa, ku Firigi 24, 20 zigabiddwa, okutwala abantu mu kibuga Dubai ku bantu 24, 20 bawangudde.
Abalala bawangudde Airtime ne Mobile Money.

Mu kukwasa Nabembezi emmotoka, yagambye nti abadde alina ekirooto okuvuga emmotoka nga omwaka gunno 2019 tegunagwako wadde abadde talina ssente kugyegulira.
“Njagala okwebaza Katonda kuba asobodde okwanukula essaala zaange, buli lwa Ssande mpadde ntambuza bigere okugenda ku Kkanisa era mbadde ntegeeza bato bange nti nina okufuna emmotoka nga omwaka gunno tegunagwako nga bansekerera, kyokka Katonda wange asobodde okunfunira emmotoka, mwebale nnyo Pepsi, Omukama abadizeewo ekinene”, ebigambo bya Nabembezi wakati mu ssanyu.
Mu Kampeyini eno, abawanguzi b’emmotoka bavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Lira, Kole, Kyenjojo, Rukungiri, Mbarara, Mubende, Jinja, Busia, Aleptong, Ibanda, Rubaga, Namugongo ne Masaka nga kuliko abakyala 9 n’abasajja 13.
Okusinzira ku Edris Ntende akulira obwa kitunzi mu bitundu bye Kabalagala, Crown Beverages bakoze kampeyini ez’enjawulo omuli Twangula, Sala Puleesa, Chamuka, Motozela ne Mirindarific era abantu bangi bafunye ebirabo eby’enjawulo kyokka ku mulundi gunno, kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi egendereddwamu okugumizza enkolagana ne bakasitooma baabwe ssaako n’okunoonya abalala.
Olunnaku olw’enkya, omuwanguzi omulala Namukabire omutuuze ku kyalo Entebbe bagenda kumukwasa emmotoka ye.