Katemba ali mu nsi, ate mu nsi y’omukwano, abantu abakola ebintu eby’enjawulo okulaga laavu eri baganzi baabwe.
Mu mbeera eyo, mu ggwanga erya Kenya agavaayo galaga nti omuwala Tanasha Donna ali mu ssanyu oluvanyuma lwa mukwano gwe omuvubuka okumuwa embwa.
Kigambibwa Tanasha ayagala nnyo embwa era mbu omuvubuka eyamuwadde embwa yali muganzi we nga Diamond Platnumz tanaba kuggya mu bulamu bwe.
Wabula abamu ku bavubuka ku mukutu ogwa Face book bagamba nti omuvubuka eyatwala embuzzi ya Tanasha, yeyamuwadde embwa okukuuma vuvuzera ya Platnumz n’okumujjukirirako.