Kyaddaki empologoma ebbiri mu kisaawe ky’okuyimba mu East Africa zifulumizza ekyasi ky’oluyimba olutumiddwa ‘Make Fire’.
Eddy Kenzo okuva mu Uganda ne Diamond Platnumz okuva mu Tanzania, oluyimba lwabwe lugenda kuwamba ekisaawe ky’okuyimba.

Kenzo ne Platnumz okufulumya oluyimba bombi, kiraga nti mu Uganda ye muyimbi asinga okuba ne kolabo n’abayimbi okuva ebweru w’eggwanga ate nga bonna banene.

Mu East Africa, Kenzo ne Raymond Shaban Mwakyusa amanyikiddwa nga Rayvanny bebayimbi bokka abalina engule ya BET.

 

https://www.youtube.com/watch?v=I0j6YGZrKVI