Poliisi y’e Pallisa etandiise okunoonyereza ku ngeri omuwala gye yattiddwamu, omulambo gwe ne gusuulibwa okumpi ne ofiisi  z’amazzi ku luguudo lwe Pallisa-Gogonyo.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Pallisa Dennis Ochama, omuwala eyattiddwa atemera mu gy’obukulu 15 – 18 era kiteeberezebwa yattiddwa mu kifo kirala, omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo wegusangiddwa.

DPC Ochama agamba nti omulambo gw’omuwala gutwaliddwa mu ddwaaliro e Pallisa okwekebejjebwa kyokka tegusangiddwamu kiwandiiko kyonna wadde okutegeera amannya ge.

Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Pallisa (RDC) Emokol Onyango asabye abatuuze okukolagana ne Poliisi okuzuula abatemu abenyigidde mu kutta omuwala n’okumanya ekigendererwa kyabwe.

Ate abatuuze bagamba nti kirabika omuwala abatemu balidde ebisobooza bye oluvanyuma ne bamutta.