Omukyala Faridah Namukabire okuva Entebbe naye awangudde emmotoka ekika kya Toyota wish mu Kampeyini ya Tukonectinge with Pepsi.

Emmotoka bagimukwasiza akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku mukolo ogwetabiddwako abantu ab’enjawulo era yamukwasiddwa Liz Ruth Adong akulira obwa kitunzi mu bitundu bye Entebbe.

Abayimbi nga bakulembeddwamu John Blaq bakyamudde abantu era bakubye ennyimba ez’enjawulo.

“Mbadde sisuubira kufuna mmotoka mu kiseera kino kuba sirina ssente kyokka pepsi esobodde okutuukiriza ekirooto kyange, mwebale nnyo, Katonda abadizeewo ekinene”  ebigambo bya Namukabire wakati mu ssanyu.

Kampuni eya Crown Beverages Limited (CBL), efulumya eky’okunnywa kya Pepsi, Mirinda, Mountain Dew, Sting, n’amazzi ga Nivana batoongoza kampeyini ya Tukonectinge okudizza ku bakasitooma ebintu eby’enjawulo.

Kampeyini ya Tukonectinge yakamala sabiti 11 era ku mmotoka 25, 23 ziwanguddwa, ku Firigi 24, 20 zigabiddwa, okutwala abantu mu kibuga Dubai ku bantu 24, 20 bawangudde.

Abalala bawangudde Airtime ne Mobile Money.