Paasita Aloysius Bugingo alaze nti mu buvubuka bwe yalemwa okugenda ewa Kojja okumulambika ku nsonga z’obufumbo.
Paasita Bugingo yasinzidde katuuti mu kkanisa ye eya House Of Prayer ministries, Makerere kikoni okwasanguza eby’omu nju wakati we ne mukyala we Teddy Bugingo.
Mu kkanisa, Bugingo yagambye nti yagumiirikiza mukyalawe ng’ali mu kikulukuto emyaka 10, tewali kwegatta wabula buli lunnaku okugula kotoni mu kiseera nga bali e Bwaise, ekiraga nti musajja muguminkiriza nnyo.
Wabula kigambibwa ebigambo bya Paasita Bugingo byeralikiriza aba famire y’omugole Susan Makula Nantaba.
“Tulina okutya nti Paasita Bugingo singa atwala muwala waffe, musajja talina mizzi, kyewunyisa omuntu omukulu okwogera ebigambo ku mukyala we gw’alinamu abaana, twebuuza nti singa atwala muganda waffe (Makula), ebintu binakyuka“, omu ku bafamire ya Makula yagaanye okumwatuukiriza amannya ge.
Mungeri y’emu agambye nti Paasita Bugingo alina okuba eky’okulabirako mu kkanisa n’abantu abalala kyokka ebigambo bye, biraga nti akyali muto mu birowoozo era tagwanidde kusumba ndiga kuba kiswaza Paasita okuwebuula mukyala we Teddy, kiswaza abaana baabwe n’endiga mu kkanisa.