Omusajja mu ggwanga erya Nigeria afiiridde mu mpaka z’akaboozi ku lawundi ey’omusanvu.
Afudde ategerekeseeko erya Davy era akutukidde mu vuvuzera y’omukyala ategerekeseeko erya Loveth mu Hotero emu mu kitundu kye Ikotun, Lagos.
Kigambibwa, omusajja abadde yeepikira omukyala nga bw’alina waaya atakoowa era teri mu nsi mukyala yenna ayinza kumukooya, Loveth kyabadde awakanya.
Loveth akiriziganyiza ne Davy okugenda mu Hotero okulaba asinga mu kaboozi.
Mu Hotero, Loveth agamba nti omusajja abadde alina amaannyi kuba amututte lawundi mukaaga (6) ez’okumu kumu kyokka ku lawundi ey’omusanvu (7), amugudde mu kifuba omulundi gumu naafiirawo.
Omukyala agamba nti olw’okutya okungi, akubye enduulu era abakozi ba Hotero, bebasobodde okusikayo omusajja mu vuvuzera wakati mu kulukuta entuuyo.
Amangu ddala, Poliisi okuva Panti Yaba eyitiddwa era omukyala Loveth akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Loveth bwatuusiddwa ku pollisi, alambuludde ensonga zonna kwekutegeeza nti omusajja abadde ataddewo omusingo gwa mitwalo 5 mu ssente ze Nigeria (N50,000) eri omuwanguzi.