Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde ayigibwa ku misango gy’okuwamba abaana mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga, James Matovu Mutaawe yakwattiddwa era abadde yeegulidde erinnya mu kuwamba abaana mu bitundu bye Wakiso, Kalangala ssaako ne Gomba.
Enanga agamba nti Matovu yasangiddwa n’omwana Angel Nakyondwe myaka 9 gw’abadde yakasembayo okuwamba era yasangiddwa mu kibira kye Musenene e Gomba.
Poliisi egamba nti Matovu abadde awamba abaana okuva Wakiso nabatwala e Kalangala, ab’e Kalangala abatwala Gomba ate ab’e Gomba abadde abakweka mu Kampala.
Enanga agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku Matovu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.