Yunivasite y’e Makerere eyimirizza abasomesa basatu (3) ku mirimu gyabwe nga bonna bali ku misango gy’okabasanya abayizi abawala.

Abayimiriziddwa kuliko Jackson Sekiryango nga musomesa wa nnimi n’empuliziganya, Vincent Ssajjabi musomesa wa Economics ne Medard Twinobuhungiro ng’asomesa bya busuubuzi.

Okusinzira kw’amyuka Chansala Polof Barnabas Nawangwe abasomesa balagiddwa okuddako ebbali okubanoonyerezaako ku by’okudda ku bayizi okubakulusanya mu nsonga z’omukwano.

Kigambibwa, abasomesa beyambisa offiisi zaabwe, okusaba abayizi akaboozi nga singa omuyizi agaana, bayinza okumusuula ebigezo.

Mungeri y’emu waliwo abasomesa, abasimbiddwako ne maaso g’abalamuzi ku misango gy’okusindikiriza abayizi okwegatta.