Poliisi ku kyalo Namalese mu ggombolola y’e Bulesa mu Disitulikiti y’e Bugiri ezudde emmundu ekika kya AK-47.

Emmundu yazuuliddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu kasiko era yasangiddwamu amasasi 29.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, Jame Mubi, emmundu yalabiddwa abatuuze abasobodde okutemya ku Poliisi.

Mungeri y’emu agambye nti kiteeberezebwa nti emmundu ezuuliddwa, babadde bagyeyambisa okutigomya ekitundu kyokka Poliisi etandiise okunoonyereza.