Ssabakunzi w’ekibiina kya Democratic Party (DP) Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone asambaze ebyogerwa nti Gavumenti etandiise okumunyigiriza, okumulemesa okuyimba oluvanyuma lw’okwegatta ku kibiina kya DP.

Chameleone agamba nti okuggya mu byobufuzi yali amaliridde era mwetegefu ku byonna ebinamukolebwako omuli okumulemesa okuyimba kyokka ensonga z’omuntu wawansi okubanyigiriza azikooye

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya DP mu Kampala, Chameleone agamba nti abadde afuna ssente okuva mu bivvulu kyokka naye munnayuganda era naye anyigirizibwa ku mbeera embi eri mu ggwanga.

Agamba nti wadde Gavumenti emulemeseza okuyimba mu Uganda, asobola okuyimba mu mawanga amalala omuli Kenya, Tanzania Burundi n’amalala kyokka tewali muntu yenna ayinza kumuggya ku mulamwa okulwanirira ensonga z’omuntu wawansi.

Kinnajjukirwa sabiti ewedde, Poliisi yalemesa ebivvulu bya Chameleone mu bitundu bye Mutukula ne Kalisizo mu disitulikiti y’e Kyotera ne mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bendobendo ly’e Masaka, Paul Kangave, Chameleone yalemwa okugoberera amateeka omuli okusaba Poliisi olukusa okusobola okukola ku nsonga y’ebyokwerinda.

Eddoboozi lya Chameleone