Ssemaka Patrick Agaba amanyikiddwa nga Pato ali ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okuwamba n’okutta omuwala Suzan Magara addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala ng’asaba okweyimirirwa.

Munnamateeka wa Pato, Robert Mackay agambye nti omuntu we omusango tegunaba kumusinga era alina eddembe okusaba okweyimirirwa.

Mungeri y’emu agambye nti alina omukyala n’abaana babiri balabirira ssaako n’amaka ku kyalo Mawanga e Buziga nga singa ayimbulwa alina wasangibwa.

Okusaba kwe, kutwaliddwa mu maaso g’omulamuzi Yasin Nyanzi era kkooti yakutuula nga 30, July, 2019 okuwa ensala yaayo.

Pato agambibwa okuba mu baawamba n’okutemula Susan Magara mu February wa 2018. Yawambibwa nga February 7, omulambo gwe ne guzuulibwa oluvannyuma lw’ennaku 21.

Kigambibwa nti Agaba ye yakwasibwa doola emitwalo 20, abatemu ze baasaba okubawa Susan.

Baasooka kusaba doola akakadde kalamba kyokka ne bazisalako. Bambega baazuula nga Agaba yali mu lukwe era ye yayogerera mu katambi ke baaweereza abazadde ba Susan akaakwatibwa nga bamusalako engalo oluvannyuma ze baaweereza aba famire.

Bambega baazuula nga Agaba olwafuna ssente n’alinnya ennyonyi n’agenda e South Afrika gye baamukwatidde. Yakwatiddwa ali ku Biici ya Drais Beach Club ng’ali n’Abazungu balya bulamu.