Omusajja myaka 24 asindikiddwa mu kkomera lye Mubuku okwebakayo emyaka 20 oluvanyuma lw’okusingisibwa emisango gy’obubbi.

Ronald Masereka asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Wilson Masalu Musene era okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 24, September, 2016, Masereka yabba bodaboda ya Francis Kanyarutokye ekika kya Bajaj boxer namba UEH 688E.

Masereka yakwatibwa abasirikale ku Poliisi y’e Bwera bwe yasangibwa ng’atunda bodaboda mu town council y’e Mpondwe.

Mu kkooti, Masereka abadde yegaanye emisango gy’okubba bodaboda kyokka oluvanyuma akirizza, ekitanudde akulembeddemu oludda oluwaabi Filbert Murungi okutegeeza omulamuzi nti obubbi bwa bodaboda n’okutta bananyinizo kweyongedde, era Masereka agwanidde okusibwa emyaka emingi okuba eky’okulabirako eri abantu abalala abenyigidde mu kubba bodaboda ssaako n’abo abalina ekirowoozo.

Wabula munnamateeka wa Masereka Luke Kanyonyi, asabye omulamuzi omuntu we okuweebwa ekibonerezo ekisamusaamu kuba tayonoonye budde bwa kkooti, akirizza mangu omusango.

Mungeri y’emu agambye nti Masereka, ssemaka alina omukyala n’abaana ate yekka yabadde anoonye ensimbi okubezaawo famire.

Omulamuzi Musene akiriziganyiza n’oludda oluwaabi nti okubba bodaboda n’okutta bananyinizo kweyongedde, kwekusindika Masereka mu kkomera okusibwa emyaka 20, kuba kiyinza okuyambako, okutangira, okwendeza oba okumalirawo ddala obubbi bwa bodaboda.