Kkooti enkulu etuula ku kyalo Rukoki mu Monisipaali y’e Kasese esindise omusajja myaka 36 mu kkomera okumala emyaka 17 ku misango gy’okutta omuntu.
Eric Sunday Nyamutale amanyikiddwa nga Aganaga nga mutuuze ku kyalo Kasanga mu ggombolola y’e Bwera yasindikiddwa mu kkomera ku misango gy’okuvirako Blasio Mbusa eyali omutuuze ku kyalo kye kimu okufa.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Andrew Kashaija nga 13, September, 2017 Nyamutale ng’avuga bodaboda yalwanagana ne Mbusa emirundi ebbiri (20 olw’omusabaze Harriet Masika, ekyavirako okufa kwe.
Oludda oluwaabi, lugamba nti oluvanyuma lw’okulwana, Mbusa yafuna obulwadde nga tasobola kuvuga bodaboda kwekumutwala mu ddwaaliro erya Kasanga Health Centre III gye yafiira.
Nyamutale yali aguddwako gwa butemu kyokka munnamateeka we Chan Masereka yakiwakanya, nagulwako omusango gw’okuvirako omuntu okufa.
Omulamuzi Musene agambye nti asindise Nyamutale okusibwa emyaka 17 okutangira abantu okwenyigira mu ntalo eziyinza okwewalika.