Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja ku by’okutta Derrick Mulindwa eyali omutuuze we Nabweru eyatugibwa n’okubwa ennyondo ku mutwe okutuusa lwe yafa mu bitundu bye Kakyeka, Mengo mu divizoni y’e Rubaga.
Nga 30, June, 2019, akatambi kasaasaanira emikutu egy’enjawulo n’okusingira ddala ogwa Face Book, nga Mulindwa attibwa mu bukambwe ne Pikipiki ye netwalibwa ababbi.
Wabula Poliisi esobodde okukwata John Bosco Mugisha amanyikiddwa nga Mukiga ku by’okutta Mulindwa n’okutwala Pikipiki era mu kiseera kino ali ku Poliisi y’e Katwe ku misango gy’okubba n’obutemu.

Mugisha baamukwattidde ku kyalo Nsike 1, Ndeeba mu Divizoni y’e Rubaga ku Lwokubiri ekkiro.
Ku Poliisi, Mugisha agambye nti mu kutta Mulindwa yali ne mukwano gwe Young Mulo ( atali muyimbi) kyokka ye yattibwa.
Agamba nti nga 2, July, 2019 babba bodaboda mu bitundu bye Mityana ne babalondoola okutuusa Makindye mu Kampala era mukwano gwe Young Mulo baamukuba okutuusa lwe yafa wabula ye (Mugisha) yasimatuka okuttibwa n’ okukwatibwa.
Mu katambi mu kiseera ky’okutta Mulindwa, Young Mulo ye yakima ennyondo naakuba ku mutwe era omulambo gwa Mulindwa gwasangibwa mu kitaba kya musaayi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Mugisha abadde yakayimbulwa mu kkomera e Luzira ku misango gy’obubbi era akakasiza Poliisi nti mu kutta Mulindwa baali betaaga Pikipiki.