Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Rev. Fr. Simon Lokodo akawangamudde, bwategeezeza nti ekkanisa ya Paasita Aloysius Bugingo eya House of Prayer Ministries International e Makerere Kikoni eggalwewo mu bwangu.

Minisita Lokodo agamba nti Paasita Bugingo asukkiridde okutyoboola eddiini n’okuswaza ekitiibwa kya basumba mu ggwanga.

Rev. Fr. Simon Lokodo
Rev. Fr. Simon Lokodo

Agamba nti kiswaza omusajja omukulu mu ddiini alina okuba eky’okulabirako okudda mu kkanisa okuswaza mukyala we Teddy Naluswa Bugingo gw’alinamu abaana ate mu lujjudde nti yalina ekikulukuto okumala emyaka 10 nga tewali kwegatta.

Minisita Lokodo agamba nti abantu balina okutwala Paasita Bugingo ng’omusajja alina ekkanisa anoonya ebibye ng’omuntu wabula si gwa kulyowa myoyo.

Eddoboozi lya Lokodo